Twitter Bird Gadget

Thursday, 17 May 2012

This sunday 20th May 2012


Remember to attend the second service to here our music OMWOYO OMUTUKUVU ANKUUMA and AMAANYI MU MUSAAYI this sunday 



OMWOYO OMUTUKUVU ANKUUMA
Waliwo omwoyo gwenina nze
Oyo ayakira munze ng’etabaaza
Era waliwo essanyu lyenfuna buligyo
Yesu yalimpa nze
CHR
 Omwoyo omutukuvu ankuuma
Omwoyo omutukuvu anjagala
Ambulira ebyo ebigenda okujja
Ankomyawo bwemba nga nkaaba

Yamanyi engeri gyenazaalwa
Nebwendiffa yalizuukiza nze
Gewmusana ogw’obulokozi munsi
Naawe omwetaaga

Wakisa anywesa n’abayonta
Ye yensulo mwenfuna nze amaanyi
Naawe leero  lekka ebyo ebyasoba
Wenenye Yesu muwe byonna


AMAANYI MU MUSAAYI
Wetaaga otikulwe ebyonoono byo
Genda  eri Yesu akutikule
oyagala  okuwangula ekibi
Musaayi gwa Yesu gwokka
CHR
Omusaayi gwa Yesu gwa maanyi
Mwegali, bwekiri
Omusaayi gwa Yesu gunaaza
Gunaaza ebibi byonna

Wetaaga otikulibwe amalala
Ogende eri Yesu akutikule
Genda ku musaalaba akunaaze
Musaayi gwe gutukuza

Wetaaga onazibwe otukuzibwe
Naaba mu musaayi gwa Yesu
Ebibi byonna bikugibwako
Bwonaaba mu musaayi ggwe





KANTENDE EYAKUBWA
CHR
Kantende eyakubwa Emiggo emingi ennyo
Natibwa ku lwange naawe
Byonna byamukolwa awonnye nze omwonoonyi
Okufiira mu bibi

Yesu wange yenna yataagulwa tagulwa
Omubiri  gwayulikka
Nga ayagala gwe, nange n’oli tukirize
Ekigambo kye leero

Yesu wange yeyatibwa luli ku mutti
Mu ngeri ey’ensonyi
Omusaayi gwe kwolwo gwafukumuka
Okunaaza nze omwonoonyi

Luliba lumu netumulaba mu bire
Yasuubiza okudda
Okutwala abaliba bakiriza
Okunaaza engoye zaabwe

2 comments: